Entababimira (vegetation)t f Nnq12Ht 0Gtm
Gakuweebwa Muwanga! Weetegerez enjawulo wakati w'entababutonde, entababiramu , n'entababimira !
Ebibira, entobazi ,ensaalu, ettali, eddungu mwonna musangibwamu entababimera (Vegetation/flora, plant habitat)'
Entababimera kitegeeza omugatte gw’ebimera byonna ebiri mu kitundu ekimu oba ka tugambe entababuvo ey’ebimera (plant community). Buno buba buvo obw’awamu kubanga ebimera bino bisangibwa mu kitundu kye kimu mu butonde bwabyo obw’enjawulo.
Ebimera kye kimu ku bikola “ensengekera y’ebiramu” (ecosystem). Ensengekera y’ebiramu erimu wammera (flora) ne wansolo (fauna). Ebimera bye bisibukamu “amasoboza” (energy) gonna ag’ensengekera y’ebiramu kubanga bbyo birina obusobozi okufuna amasoboza butereevu okuva mu kitangaala ly’enjuba. Amasoboza agano okuva kunjuba bigakozesa okukola emmere yabyo.
Ebisonjozo by’ebimera (Characteristics of plants)
Ebimera bimeruka (germinate) Ebimera bikula (grow) Ebimera bifa (they die) Ebimera byezaalusa (Plants reproduce).
Ebiwangaaliro by’Ebimera (Habitats of plants)
Ebimera bimera mu ttaka, entobazi, mu mazzi, ebyaziyazi, ne mu nnimiro (gardens).
Ebitundu by’ekimera ekimulisa (flowering plant)
Ebimera eby’ebimuli (Flowering plants) by’ebimera ebimulisa (they bear flowers). Ebimera bibeerako ebitundu bino:
Emirandira (Roots), ekiruli (stem), ebikoola (leaves), ebimuli (flowers), n’ensigo (seeds). Ku kimera kino bino ebitundu biyitibwa bitya .
Emigaso gy’ebimera ebimulisa
Ebimera ebimulisa (flowering plants) tubijjako: (i) Emmere (Food), (ii) Eddagala (Medicine), (iii) Amasoboza (energy) nga ebyaffuta (fuel) n’enku. (iv) Bikendeeza emisinde gy’embuyaga( they are wind breakers) (v) Biziiyiza ekikuluggusattaka (soil erosion) (vi) Embaawo(timber) (vii) Biwangaaliro (habitats) bya nsolo za mu nsiko
Emigaso gy’ebitundu by’eminera eby’ebimuli
(a) Emirandira egimu nga muwogo oba lumonde gitereka emmere y’ekimera, okunywereza ekimera mu ttaka, awamu n’okutambuza emmere (transport food).
(b) Ekiruli (stem) ky’ebimera nga ebikajjo kitereka emmere y’ekimera, kimerukako amatabi g’ebimuli awamu n’okutambuza emmere eyetaagisa ekimera kyonna.
(c) Ebikoola (leaves) bye byeyambisibwa ekimera okussa (breathing), biyitanu amazzi okuyingira mu nampewo (atmosphere), bikola emmere y’ekimera, awamu n’okufulumya kazambi (waste products).